
EKITABO KY'AMAWULIRE
Minisitule y’ebyobulamu ne Marie Stopes Uganda balangiridde okukomyawo obupiira obupya, obulongooseddwa, era obukakasibwa NDA obwa Life Guard. Kondomu zino ezaakolebwa nga zikolagana n’ekitongole kya UNFPA ekisooka okukola kondomu – Thai Nippon Rubber industries (TNR), zituukana n’omutindo gw’obukuumi ogw’ensi yonna ogw’oku ntikko, okukakasa nti zeesigika era nga zikola bulungi.
Dr Charles Olaro, Dayirekita avunaanyizibwa ku kujjanjaba abantu era Focal Point for Family Planning mu minisitule y’ebyobulamu yalaze nti,
“Obwetaavu bwa kondomu obubalirirwamu buli mwaka ku kondomu ezitundibwa mu mbeera z’abantu n’ez’ettunzi mu Uganda buli bukadde 20. Life Guard ewaayo nga 43% ku katale kano.”
Yagasseeko nti okuggyibwako kondomu za Life Guard omwaka oguwedde kyalekawo ekituli kinene ekiyinza okulemesa kaweefube wa minisitule y’ebyobulamu okukomya okusaasaana kw’akawuka ka siriimu, nga kikwatagana n’enteekateeka ya Pulezidenti ey’amangu ey’okumalawo akawuka ka siriimu ne mukenenya mu Uganda omwaka 2030 we gunaatuukira.
Kondomu empya eza Life Guard zikebereddwa, omuli okukebera obukuumi mu byuma bikalimagezi, okwekenneenya okukwatagana kw’ebiramu, okukeberebwa buli luvannyuma lwa kiseera nitrosamine ne protein – nga zigoberera omutindo n’ebisaanyizo by’obukuumi ebya ISO 4074, ISO 10993, ASTM, ne WHO.
Ebitundu bya kondomu byonna nabyo bikeberebwa amazzi aga electrolyte okulaba oba gakulukuta era ne bikeberebwa amaanyi g’okubutuka n’obugumu nga bakozesa ebyuma ebikebera empewo efuumuuka.
Olw’okuba tufunye satifikeeti okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga, tuli bakakafu nti Life Guard etuukirizza emitendera gy’okulondoola omutindo era nga tewali bulabe eri Bannayuganda bonna okukozesebwa
Mu bigambo bye, Dr Carole Sekimpi, Country Director wa Marie Stopes akakasizza nti,
“"Marie Stopes yeewaddeyo okuwa ebintu eby'omutindo ogw'awaggulu.Enkolagana yaffe ne laboratory y'ekitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna esooka okumanyisibwa ekakasa nti ebintu byaffe bigoberera omutindo gw'eggwanga n'ensi yonna."”
Kondomu za Life Guard empya era ezirongooseddwa zisangibwa mangu mu maduuka g’eddagala, mu bifo by’ebyobulamu, mu supamaketi, n’amaduuka okwetoloola eggwanga lyonna.
Okumanya ebisingawo ku kintu kino n’empeereza yaffe, tutuukirire ku... 0800220333 (ku bwereere)




